Olina Kyononya, Ask Me??

Sing Along Lyrics


Mugulu
by Zanie Brown

View Zanie Brown's Profile   Download the MP3


Hmmm (eeh)
Hmmm (eeh)
Hmmm (eeh)

Natudde ne ndowooza ku nsi eno
Mukama gye yatonda!
Natudde ne ndowooza ne ku muntu
Mukama gwe yabumba!
Akuzaala akuzaalira mu bulumi
Bw’ofa era bakuba miranga
Naye, singa ensi twali tetugireka
Nga teri musango Katonda gw’atunenya
Ng’ebiragirobye tetubigaya
Ng’enguzi teri agyetaaga
Nga mu nsi temuli ku raping-a
Nga tewali abulwa kya kulya
Singa sitaani teyatondwa, oh
Nga ne geyeena teyakumibwa
Ng’era n’eggulu
Si kifo ekyakwekebwa
Nga buli omu ayingira
Nga buli ayagadde afuluma

Nga tusula eyo ooh ooh
Ku makya ne tujja eno ooh ooh
Eky’eggulo ne tukirya eyo ooh ooh
Lunch ne tugirya eno ooh ooh

Singa twali tetwegeya
Nga ne bwe nkusinga tondoga
Ng’obudde bw’obuggya tobulina
Singa tewali alina kufa
Singa twali tetwesobya
Nga teri azimba makomera
Mu nsi bwetyo (oh)
Amaziga gandivudde wa?
Mu nsi bwetyo (oh)
Singa tewaali alwala
Nga teri mukazi afa azaala
Nga tumanya olw’enkya bwelunaaba
Nga mu nsi temuli njawukana

Ng’era n’eggulu
Si kifo ekyakwekebwa
Nga buli omu ayingira
Nga buli ayagadde afuluma

Mazima n’abatuukirivu nabo batya okufa
Yadde nga gye bagenda teriiyo biruma
Engeri entuufu yandibadde
Ng’omuntu bw’afa
Lukya n’adda (n’adda)

View More Lyrics